
Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine afulumizza ekyasi ky’oluyimba olutumiddwa “TONKYAWA”.
Oluyimba Tonkyawa lwa mukwano era lugendereddwamu okwegayirira omukyala obutamukyawa wadde yamusobyako.
Mungeri y’emu oluyimba, Bobi Wine asabye omukyala okukuuma omukwano gwabwe kuba ye buli kimu mu bulamu bwe kyokka tekimanyiddwa ani gwabadde yegayirira.
Mukyala wa Bobi, Barbie Itungo asobodde okweyambisa oluyimba olwo, okukwata ka vidiyo okulaga abantu nti ebintu byonna bitambula bulungi wakati we ne bba.