
Ssentebbe wekibiina kya NRM era omukulembeze weggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni asiimye nnalulungi wa Uganda era nnalulungi wa Afrika Quiin Abenakyo okuwuliriza amagezi agamuweereddwa abantu abakulu mu ggwanga.

Pulezidenti Museveni agamba nti bwe yali akyazizza Abenakyo mu State House Ntebbe nga 20, December, 2018 yamusaba okwesonyiwa ebiwaani by’enviri okusobola okutumbula obulungi empisa n’obuwangwa bwa Uganda ne Africa yonna, ekintu kye yatukirizza.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga 29, December, 2018, Museveni yakyazizza Abenakyo mu makaage e Rwakitura ku kijjulo era yamusiimye okuwuliriza abantu abakulu nasobola okwesonyiwa ebiwaani by’enviri.
Museveni yeyamye okuwagira Abenakyo mu mbeera yonna okutukiriza ebigendererwa bye n’okuyamba famire ye.
Mungeri y’emu yasuubiza okuteeka ssente mu kibiina kya Miss Uganda Foundation okusobola okunoonya abawala abalala abayinza okutunda Uganda.
Ekijjulo kyetabiddwako abantu abenjawulo omuli Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu ggwanga, Janet Kataaha Museveni, abakungu mu Gavumenti, aba famire ya Abenakyo n’abantu abalala.

Kinnajjukirwa nti Quiin Abenakyo okulembeza kampiyini y’okulwanirira omwana omuwala okusigala mu ssomero n’okubatangira okufuna embuto ku myaka emito, kyamuyamba nnyo okutuuka ku buwanguzi obwo obwa nnalulungi wa Uganda era nnalulungi wa Afrika ku mikolo egyali mu ggwanga erya China.