Munnayuganda Peng Peng awangalira mu ggwanga erya Sweden alabudde Omuyimbi Bebe Cool okukomya bunambiro okwogera nnyo ku nsonga za Poliisi okulemesa Bobi Wine okuyimba.

Peng Peng agamba nti wadde y’omu ku bannayuganda abawagira Bebe Cool, aba ‘Silent majority’ sikyabwenkanya okulemesa Bobi Wine okuyimba kuba abantu bangi nnyo abanyigirizibwa era abalemesebwa okunoonya ssente.

Bebe Cool
Bebe Cool

Mungeri y’emu agambye nti kyabadde kikyamu Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okukuba akalango okuyita abantu okuwagira mutabani we Bebe Cool mu kivvulu ‘Tondeka Ekiwatule Mutima Gwa Zzaabu’ kuba kyayongedde okwawulamu bannayuganda.

Peng Peng alabudde Bebe Cool okusirika kuba abantu banyivvu nnyo era ebigambo bye byabulabe mu kiseera kino.

https://www.youtube.com/watch?v=5YDTGG2mRdY