
Wadde bannayuganda bakyali mu ssannyu olw’okuyingira omwaka omuggya ogwa 2019, nate omuyimbi Weasel Manizo yekokodde omwaka omukadde ogwa 2018 okumukaabya amaziga.
Weasel agamba nti omwaka 2018, gumutidde abantu bangi nnyo omuli ne mukwano gwe eyali afuuse muganda we, Moses Nakintije Ssekibogo eyali amanyikiddwa nga Mowzey Radio, eyafa nga 1, February, 2018, oluvanyuma lw’okukubwa mu bbaala ya Der Bar Entebbe n’emikwano gye, egy’afiiridde ku lyato nga bagenda okulya obulamu omwaka oguwedde ogwa 2018 mu November ku nnyanja Nnalubaale, emanyikiddwa nga Lake Victoria.

Weasel ng’ali ne mukulu we Jose Chameleone bagamba nti omwaka 2019, bannayuganda bateekeddwa kutambulira mu kwagala n’obwesigwa.