Kyaddaki omuyimbi King Saha asambaze ebyogerwa nti yenyigira mu kubba ennyimba z’omugenzi Mowzey Radio.

Bangi ku bannayuganda bagamba nti King Saha yabba ennyimba omuli Biri Biri, Mpa Love lwe yayimba ne Weasel Manizo n’ennyimba endala era y’emu ku nsonga lwaki omwaka 2018 y’omu ku bayimbi, abasinze okuvuganya nnyo mu kisaawe ky’okuyimba.

Omugenzi Mowzey Radio
Omugenzi Mowzey Radio

Wabula King Saha agamba nti ennyimba zonna yaziwandiika kyokka okuzigerageranya ku z’omugenzi Radio, kabonero akalaga nti alongoseza omutindo gw’okuwandiika ennyimba kuba Radio yali muyimbi wamaanyi nnyo.

Mungeri y’emu agambye nti abantu okuvaayo ku nnyimba ze, kimwongedde ettutumu mu bantu era wakwongera okwewunyisa abantu ku nnyimba zonna zagenda okufulumya.

King Saha era agambye nti ennyimba zonna zafulumya nungi nga tewali nsonga lwaki omugenzi Radio yali taziyimba.

Bwe yabadde ku Sanyuka TV mu Pulogulamu ‘UNCUT’ King Saha yakakasiza nti abantu okumwagala ennyo, kimwongedde amaanyi okuyiiya ennyimba eziyinza okubanyumira.