
Kyaddaki omuyimbi Bebe Cool ayogedde ensonga lwaki yakyawa Bobi Wine era agwanidde okumwetondera mu lwatu.
Bebe Cool agamba nti wadde yagudde Bobi Wine mu kifuba mu kivvulu kya Eddy Kenzo ku Serana Hotel mu Kampala ku Lwokutaano, tanaba kumusonyiwa.
Agamba nti Bobi Wine okuyimba ennyimba ezirumbagana famire ye, y’emu ku nsonga lwaki empalana yeyongera kubeera mbi era ateekeddwa okumwetondera okusobola okuddamu okwatagana.
Bebe Cool agamba nti okusanga Bobi Wine mu kivvulu yabadde akisuubira kyokka akisuubira kyokka okumugwa mu kafuba n’okwogera bombi, yabadde takisuubira.