
Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ayanukudde muyimbi munne Bebe Cool ku ky’okumwetondera mu lwatu.
Bebe Cool agamba nti wadde yagudde Bobi Wine mu kifuba mu kivvulu kya Eddy Kenzo ku Serana Hotel mu Kampala ku Lwokutaano, tanaba kumusonyiwa.

Bebe Cool agamba nti Bobi Wine okuyimba ennyimba ezirumbagana famire ye, y’emu ku nsonga lwaki empalana yeyongera kubeera mbi era ateekeddwa okumwetondera okusobola okuddamu okwatagana.
Wabula Bobi Wine amwanukudde era agambye nti mu kiseera nga bayimba ennyimba ezerumbagana bali bavubuka era y’emu ku nsonga lwaki bakyavuganya mu kisaawe ky’okuyimba.
Mungeri y’emu agambye nti mu kiseera kino tayinza kwetondera Bebe Cool ng’omuntu kuba ensonga yabwe ya ggwanga lyonna.