
Ku lunnaku olwokutaano, bangi ku bannayuganda basigadde bebuuza lwaki Omuyimbi Bebe Cool yayambadde akasuuti akamyufu mu kivvulu ky’omuyimbi Eddy Kenzo ekyabadde ku Serena Hotel mu Kampala.

Bebe Cool agamba nti ng’omuyimbi alina okwambala obulungi kuba alina abantu bangi nnyo abamugoberera kyokka mu dduuka gy’agula engoye yageenda okutukayo ng’akasuuti wasigaddeyo kamu mu langi emyufu.
Agamba nti munnayuganda era buli muntu yenna waddembe okwambala langi gyayagala.