Bobi Wine ne Bebe Cool mu kivvulu kya Kenzo
Bobi Wine ne Bebe Cool mu kivvulu kya Kenzo

Katikkiro wa Buganda, munnamateeka Charles Peter Mayiga asuubiza okuyingira mu nsonga za Bebe Cool ne Bobi Wine basobole okuddamu okwatagana obulungi.

Mukuuma Ddamula agamba nti ekyakoleddwa mu kivvulu kya Eddy Kenzo ku Serena Hotel mu Kampala, Bebe Cool ne Bobi Wine okuddamu okwebuzaako oluvanyuma lw’emyaka egigenda mu 10, kyabadde kirungi nnyo era ye mukuku wabwe, yeyamye okubatabaganya okusobola okuggyawo enjawukana, ezittattana ekisawe ky’okuyimba mu ggwanga lino.

Katikkiro Mayiga yabyogeredde ku Bat Valley bwe yabadde yakava okulaba omuzannyo oguyitibwa ennyonta ogwa ba Afri Talent ne Diamonds Essemble ku wikendi.

Kinnajjukirwa nti ku lunnaku Olwokutaano nga 4, January, 2019, Kenzo bwe yabadde ajjaguza okuweza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba, Bebe Cool ne Bobi Wine begudde mu kafuba era batuuziddwa ku mmeeza emu, akabonero akalaze nti basobola okuddamu okwatagana.