Enduulu yasanikidde Serena Hotel mu Kampala mu kivvulu kye Eddy Kenzo, Rema Namakula bwe yalinye ku siteegi okuyimbira abantu.

Rema yalinye ku siteegi n’oluyimba ‘Tikula’ era yasobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo kyokka oluyimba lwe Siri Muyembe, lwawadde abadigize enseko.

Okuyimba kwa Rema, kwalaze abantu nti tewali buzibu bwona wakati we bba Kenzo kuba ne ku siteegi, yayaniriziddwa Kenzo, ekyayongedde okuwa abantu essannyu n’okuggyawo oluvuvumo oluyita nti ye ne bba balina obutakwatagana.

Kenzo yabadde ajjaguza okuweza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba era asobodde okutunda Uganda mu nsi ezenjawulo nga yeyambisa okuyimba kwe.

 

https://www.youtube.com/watch?v=bVAmOanzKoI