Abamu ku basumba b’enzikiriza y’abalokole basabye omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu era amanyikiddwa ng’omuyimbi Bobi Wine akyuse oluyimba lwe olwa ‘Tuliyambala Engule’ alujjemu ebigambo bya Katonda oba si ekyo kamujuutuke.

Abasumba nga bakulembeddwamu Martin Sempa owa Makerere Community Church bagamba nti Bobi Wine alina okukyusa oluyimba lwe era singa alemerako, bagenda kumutwala mu kkooti z’eggulu.

Sempa agamba nti oluyimba Tuliyambala Engule lutyoboola enzikiriza kuba balutaddemu ebyobufuzi era n’omusumba Wilson Bugembe yakoze nsobi okuba omu ku bayimbi abalubaddemu okuyimba oluyimba olwo.

Okuva oluyimba luno bwe lwafuluma, abantu bangi bazze balutaputa bulala nga waliwo abalowooza nti kuno kwabadde kuvvoola katonda.

Bobi Wine akyogedde enfunda nyingi nti oluyimba luno yalweyambisa kubaako bubaka obw’enjawulo bw’atuusa eri abantu.
Bobi Wine agamba nti Gavumenti esukkiridde okulemesa okuyimba n’ennyimba ze kuba n’oluyimba lwe ‘Freedom’ balulemesa mu ggwanga.