
Abavunaanibwa ku musingo gw’okulya mu nsi olukwe abakwatibwa mu kalulu k’okuddamu okulonda omubaka wa Arua basabye kkooti eragire mangu poliisi ebadize ebintu byabwe ebyabagibwako nga bakwatibwa.
Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine agamba nti Poliisi yamutwalako empeta y’obufumbo n’emmotoka bbiri (2) ne ddoola za America 600, Omubaka w’ekibuga Arua Kassiano Ezati Wadri agamba nti Poliisi yamutwalako obukadde 85 n’emmundu ekika kya basitoola gye yafuna mateeka, Night Asala agamba nti Poliisi yamutwalako ensawo y’omu ngalo nga mulimu obuwale bw’omunda bubiri (2) ne ssente 380,000 n’abantu abalala.
Ensonga zabwe bazanjulide omulamuzi w’eddala erisooka mu kkooti e Gulu Isaac Kintu Nimran olunnaku olw’eggulo.
Omulamuzi Kintu yafulumiza ekibaluwa ekiragira abakulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku Poliisi y’e Gulu okuggya mu kkooti nga 14, March, 2019 okulambulula embeera y’ebizibiti ebyagibwa ku bavunaanibwa.