
Eyaliko DPC Old Kampala ne Buyende Muhammad Kirumira alemeddeko nti tewali muntu yenna agenda kumulemesa kwogera bituufu ebiri mu kitongole kya Poliisi.
Sabiti ewedde Kirumira yakwatibwa nga yakamala okulangirira nti akyuse emirimu gya Poliisi era omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura yalonda ASP Edgar Akankwatsa okuduumira Poliisi y’e Buyende.
Enkya ya leero, Kirumira bw’abadde aleteddwa mu kkooti ya Poliisi e Naguru agambye nti ye talina musango gwona era Poliisi terina bujjulizi, tewali muntu yenna agenda kumulemesa kutegeza ggwanga ebikyamu ebiri mu Poliisi.
Kirumira era avumiridde abasirikale abatula ku kkooti ya Poliisi nti baliwo mu bukyamu era terina lukusa kumuwozesa kuba bebamugulako emisango.
Wabula okusinzira ku ssentebbe wa kkooti ya Poliisi Denis Odongpiny agambye nti kkooti yabwe yenkanankana ne kkooti z’abantu ezimanyikiddwa.
Emisango egivunanibwa Kirumira kigambibwa yagizza wakati wa 2012 – 2014 omuli obuli bw’enguzi, okutulugunya abantu n’okubajjako ssente.
