Omuyimbi Catherine Kusasira asabye abayimbi okwegata mu kiseera kino okusobola okulwanyisa agamu ku mateeka agaleeteddwa minisitule y’ekikula ky’abantu n’abakozi okulambika abayimbi mu ggwanga lino omuli

1 – Omuyimbi akozesa ebiragalalagala omuli enjaga ajja kuba azizza musango era talina kulinya ku siteegi.

2 – Omuyimbi yenna aneewaggula n’ayimba ebweru wa Uganda nga tafunye lukusa okuva mu Gavumenti, layisinsi ye ejja kusazibwamu.

3 – Wajja kuteekebwawo olukiiko olusunsula n’okuyita mu biyiiyiziddwa n’okukwasisa empisa eri abayimbi bonna mu ggwanga lino.

4 – Omuyimbi yenna alina okufuna olukusa okuva mu minisitule okukirizibwa okuyimba mu kivvulu kyonna.

5 – Tewali muyimbi yenna agenda kukkirizibwa kukwata vidiyo nga tamaze kufuna lukusa okuva mu minisitule.

6 – Buli muyimbi alina okuwandisa ennyimba ze mu minisitule.

7 – Omuyimbi ayambadde mu mbeera eyeesittaza tajja kukkirizibwa kulinnya ku siteegi yonna mu Uganda. 8 – Buli mutegesi w’ekivvulu alina okuteekawo eby’obujjanjabi ebisookerwako eri abayimbi ku kivvulu n’abantu babuligyo.

9 – Omuntu ojja kusooka kufuna layisinsi okukola omulimu gw’okuyimbi mu Uganda.

10 – Omuyimbi tajja kukkirizibwa kuyimba mu bifo ebisukka mu kimu nga tewannayita ssaawa nnya ng’amaze okuyimba mu kivvulu ekisooka.

Kusasira agamba nti singa begatta mu kiseera kino, ayinza okutwala ensonga zabwe eri omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni kuba musajja alina omukwano, awuliriza buli nsonga yonna ate mwetegefu okukolagana n’abantu abalala bonna.