Paasita Augustine Yiga Mbizzaayo ow’e Kawaala atabukidde bannayuganda abagamba nti tamanyi luzungu era mbu tagwanidde kubulira njiri.
Paasita Yiga ye musajja teyasoma kugenda wala era y’emu ku nsonga lwaki abulira mu Luganda.
Agamba nti wadde tamanyi Luzungu, asobodde okweyambisa oluzugu olw’ebitege okubulira enjiri mu ggwanga erya South Africa era bangi ku bannansi ba South Africa banyumirwa nnyo enjiri ye.

Mungeri y’emu agambye nti wadde teyasoma, asobodde okutandikawo bizinensi ezitali zimu omuli Ttiivi nakozesa abaasoma.

Paasita Yiga agamba nti bannayuganda balina okukimanya nti omuntu alina ssente asinga alina ebitabo nga yasoma kyokka nga mwavu.