Abamu ku bawagizi ba Bebe Cool mu kibiina kye ekya Gagamel basanyukidde ekya mukama wabwe Bebe Cool okutandiika okuswaza abamu ku bayimbi abafuna ku ssente okuva eri omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni eziri mu bukadde bwa ssente.

Bebe Cool agamba nti kiswaza abamu ku bayimbi okutandiika okuvuma Pulezidenti Museveni ate nga balya ssente ze mu nkukutu era yasuubiza okweyambisa omukutu ogwa Face Book okulaga abayimbi bonna be yawa ku ssente kyokka tekimanyiddwa oba zaali zaaki.

Bebe Cool asobodde okuteekayo vidiyo ng’awa omuyimbi Dr Hilderman ssente ekitabudde abawagizi ba People Power n’okusanyusa aba Gagamel.

Aba Gagamel bagamba nti Bebe Cool y’omu ku bayimbi mu Uganda abalemedde ku mazima era okuggyayo abayimbi abafuna ku ssente kigenda kulaga eggwanga nti abayimbi abamu bankwe kyokka abawagizi ba People Power bagamba nti Bebe Cool akola bya kito era alina okweddako kuba musajja mukulu.
Aba People Power bagamba nti abayimbi balina famire era okuyimba ‘Tubonga Naawe’ baali balina okufuna ssente.

Wadde aba People Power batabuse, Bebe Cool alangiridde nti essaawa yonna agenda kufulumya vidiyo y’omuyimbi omulala eyafuna ssente okuva eri Pulezidenti Museveni.