
Poliisi y’e Lwengo ekutte omusawo w’ekinnansi, agambibwa okufera abantu, ng’abasuubiza okubajanjaba endwadde ezenjawulo, okubawa obugagga n’abakyala abanoonya ezadde okufuna embuto.
Akwattiddwa y’e Charle Waswa Ssenkindu omutuuze ku kyalo Kabwami mu kikwekweeto kya Poliisi n’abakulembera abasawo b’ekinnansi mu kitundu ekyo.
Abatuuze babadde balumiriza Ssenkindu, okuleeta ebyokoola ebitabudde ekyalo kyabwe, okugaanza bakabasajja n’okusaddaka abantu.
Omukwate Ssenkindu agamba nti muto we Kizza akolera mu Kampala yamuwa amagezi okutandiika esabo era omuntu singa afa, bamugyemu omuzigo bagulye okufuna amaanyi okusawula obulungi kuba yali talina mulimu.
Abatuuze, basobodde okusanyawo esabbo lya Ssenkindu n’okusanyawo ebintu byonna byabadde akozesa mu kusawula abantu.
Akulira Poliisi y’e Nkoni, Jesca Nerima, alabudde abatuuze okwegendereza abasawo abafere mu kitundu kyabwe era agambye nti ebikwekweeto bikyagenda mu maaso.