Obutakaanya bweyongedde wakati w’omuyimbi Bebe Cool ne Dr Hilderman ng’entabwe evudde ku ssente n’akatambi.

Sabiti ewedde Bebe Cool yafulumya vidiyo nga Dr Hilderman afuna ssente ezaava eri Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni era bangi ku bannayuganda basigala bebuuza ssente zaali zaaki?.

Wabula Dr Hilderman agamba nti mu vidiyo, Bebe Cool yali amuwa ssente obukadde 2 oluvanyuma lw’okutongoza oluyimba lwa “Tubonga Naawe” mu 2015 olwakozesebwa Pulezidenti Museveni mu 2016 mu kiseera kya kampeyini.

Dr Hilderman agamba nti yafuna ssente kuba yali azikoleredde ate mu kiseera ekyo yali muwagizi wa Pulezidenti Museveni.

Mungeri y’emu agambye nti Bebe Cool musajja mukulu kyokka yewuunya endowooza ye ate Bebe alina okukomya okumanyira n’okulagira abantu abakulu ng’alagira abaana be.

Dr Hilderman agamba Bebe Cool alina okunoonyereza lwaki mu kiseera kino awagira People Power kyokka mu 2015 yali muwagizi wa Pulezidenti Museveni.

https://www.youtube.com/watch?v=7imflejrgqw