
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’obuwangwa mu minisitule y’ekikula ky’abantu n’abakozi, Peace Regis Mutuuzo asambaze ebigambo ebyogerwa nti amateeka agaletebwa okulambika ekisaawe ky’okuyimba, kigendereddwamu okulemesa Bobi Wine okuyimba mu Uganda n’ebweru walyo.
Minisita Mutuuzo agamba nti amateeka gakulambika abayimbi bonna n’okubatereeza omuli okulwanyisa obuseegu, abanywa enjaga n’ebiragalaragala, abayimbi abayimba ebigambo ebiwemula ebyagala okusaanyawo ebyobuwangwa.

Bobi Wine
Minisita Mutuuzo agamba nti Bobi Wine essaawa yonna ayinza okunyuka eby’okuyimba era Gavumenti teyinza kuleeta mateeka aganyigiriza omuntu omu.
Ku nsonga y’abayimbi okuwaayo ebirowoozo byabwe, Minisita Mutuuzo agambye nti bonna bagenda kwebuzibwako.