Kyaddaki mwana mulenzi Douglas Lwanga asabuukuludde ebyama lwaki yavudde ku NTV nagenda ku NBS.
Sabiti eno, Douglas abadde awereza Pulogulamu “The Beat” ku NTV yalangiridde mu butongole nti alekulidde.
Ku lunnaku Olwokuna, Douglas bamulangirira nga omukozi wa NBS esangibwa e Kamwokya era emirimu gye yagitandise olunnaku olw’eggulo ku Lwokutaano.
Wabula Douglas bwe yabadde ku 100.2 Galaxy FM olunnaku olw’eggulo, yagenze ku NBS okufuna ekifo wayinza okutambuliza emirimu gye nga tewali kulwanagana n’okufuna ekitiibwa ekimugwana.
