Ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) e Lubaga era akulembera akabinja ka Bodaboda 2010 Abdullah Kitatta kyaddaki akiriza okuwoleza emisango egimuvunanibwa mu kkooti y’amaggye e Makindye.
Kitatta atuusiddwa ku kkooti ng’asibiddwa enjegere ku magulu wakati mu by’okwerinda eby’amaanyi ng’ayambadde T-Shirt eyakyenvu, okuddamu okuwuliriza emisango gye.
Mukusooka, Kitatta yali awakanyiza okuwozesebwa mu kkooti y’amaggye kuba ye muntu wa buligyo nga bateekeddwa kumutwala mu kkooti za buligyo.
Wabula enkya ya leero, bannamateeka be nga bakulembeddwamu Shaban Sanywa, bategezeza nti bakiriza abantu babwe okwanukula ebibuuzo byona ebigenda okubuzibwa mu kkooti y’amaggye oluvanyuma lw’okwebuuza ku bantu abenjawulo.
Kitatta avunanibwa ne banne 12 okuli Sowali Ngobi, Amon Twinomujuni, Joel Kibirige, Matia Ssenfuka, Hassan Ssebata, John Kayondo, Hassan Ssengooba, Sunday Ssemogerere, John Ssebandeke, Hussein Mugema, Fred Bwanika ne Ibrahim Ssekajja emisango egyenjawulo omuli okusangibwa n’ebintu by’amaggye omuli ebyambalo n’engatto, okusangibwa ne sitoowa y’ebintu ebyokulwanyisa n’emisango emirala kyoka emisango gyona bazeemu okugyegaana.
Kkooti ng’ekubirizibwa ssentebbe Lt. Gen. Andrew Gutti ayongezaayo okuwuliriza emisango gyona okutuusa nga 19th March, 2018.
Mungeri y’emu Kitatta asindikiddwa mu kkomera ly’amaggye e Makindye okuva e Luzira gy’abadde nakaaba ate banne 12 baziddwayo e Luzira.