Bya Nalule Aminah
Omulamuzi wa kkooti Nakawa Jameson Kareman ayongezaayo okutuusa nga 14, March, 2018, okuddamu okuwuliriza omusango oguvunanibwa munnamawulire omugundivu Isaac Bakka.
Bakka, yabuzibwawo 9, October, 2017, kyoka oluvanyuma kyazulwa nti yali akwatiddwa, era nagulwako ogw’okulya mu nsi ye olukwe era nasindikibwa ku Limanda e Luzira.
Enkya ya leero, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ann Nyimbe, lusabye omulamuzi okubongera obudde okomekereza okunoonyereza kwabwe era omulamuzi awulidde okusaba kwabwe nayongezaayo paka nga 14, March, 2018.
Emisango egimuvunanibwa kigambibwa yagizza wakati wa Janwali, 2017 ne Janwali, 2018.
