Kkooti enkulu e Masaka eriko abasajja babiri (2) beesindise mu kkomera okusibwa emyaka 40 buli omu lwa kutta muntu.
Emmanuel Ssekisasi ne Matia Ndugga basingisiddwa emisango ebbiri (2) omuli egy’obubbi n’obutemu.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Shebah Byakutagga, nga 4, November, 2014, Ssekisasi ne Ndugga, baapangisa Thomas Mugga eyali avuga bodaboda ku siteegi y’e Mutukula nga bamutwala ku kizinga kye Kasensero.
Nga bageenda, webatuuka mu kkubo, Mugga baamutuga okutuusa lwe yafa ne batwala pikipiki ye ekika kya Bajaj boxer namba UEE 853D.
Pikipiki bagitwala mu ggwanga erya Tanzania kyokka oluvanyuma yazuulibwa era ne bagikwata.
Mu kkooti, Byakutaga agambye nti omulambo, bagusuula mu ssamba lya kasooli era gwalabwa abatuuze abaali batambula nga bageenda ku mirimu gyabwe.
Omulamuzi Winfred Nabisinde mu kuwa ensala ye, abasaliddwa okusibwa emyaka 35 lwa bubbi n’emyaka 45 lwa butemu kyokka ebibonerezo byonna bigenda kutambulira wamu.