Poliisi y’e Nwoya ekutte omusajja ku by’okutta muganda we omuto.
Denis Ojok myaka 34 yattiddwa ekkiro ekikeseza olwaleero ku Mmande oluvanyuma lw’okutaasa okulwanagana wakati wa mukulu we Richard Okello ne mukyala we.
Okello n’omukyala baafunye obutakaanya nga baakava mu bbaala ku kyalo Ywaya mu ggombolola y’e Anaka mu disitulikiti y’e Nwoya.
Wabula Ojok yayingidde mu nsonga okutaasa okulwanagana kyokka oluvanyuma mukulu we Okello yamulondodde okutuuka makaage, namenya oluggi era yamukubye, enkumbi ku mutwe eyamutiddewo.
Ku Poliisi, muto wa Ojok, Richard Obalim agamba nti yewunyiza mukulu we okutta muganda waabwe era agamba nti ettamiro eyinza okuba emu ku nsonga lwaki yamusse.
Ku nsonga eyo, adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Nwoya Philbert Waibi, agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.
Ate omulambo gwa Ojok gutwaliddwa mu ddwaaliro lye Anaka okwekebejjebwa.