Poliisi mu Kampala ekutte omusajja myaka 28 era akirizza okutta malaaya myaka 40 ku by’okubba ssente ze emitwalo 14, (140,000shs) mu waleti  lw’okunyumya akaboozi.

Omusajja akwattiddwa ategerekeseko nga Bernard, omutuuze we Najeera mu Monisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso ku by’okutta malaaya Florida Nakalema.

Bernard yatutte Nakalema mu loogi eya Comfort Lodges Bar and Restaurant e Ntinda mu Divizoni y’e Nakawa era yamusse ku Ssande ekkiro, oluvanyuma lw’okubba ssente ze.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Afande Luke Owoyesigyire, Bernard yakubye malaaya oluyi nawuunga oluvanyuma yakutte ppiro namutta.

Poliisi egamba nti Bernard olw’amaze okuta malaaya, yayagadde okudduka kyokka oluvanyuma yakwattiddwa abatuuze nga beegattiddwako abakulira Loogi nakwasibwa Poliisi.

Mu loogi, omulambo gwa Nakalema gwasangiddwa nga guvaamu omusaayi mu kamwa, amaaso ssako n’amatu era amangu ddala, omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika okwekebejjebwa.

Owoyesigyire agamba nti Bernard aguddwako gwa butemu era Poliisi etandiise okunoonyereza.

Bernard okukwattibwa, kyadiridde abakulira loogi, okumwekengera engeri gye yabadde akankana n’engeri gye yafubutuse mu kasenge okwesoga emmotoka okweyongera.