Kkooti y’amaggye e Makindye eriko abantu mukaaga (6) besingisiza emisango gy’okutta abantu babiri (2) n’okubba obukadde bwa ssente 435 okuva Muto Hardware mu disitulikiti y’e Masaka omwaka oguwedde ogwa 2018.
Abasingisiddwa emisango kuliko munnamaggye eyaganyuka corporal Paul Kiwanuka, Steven Kayemba, Waliggo John Bosco, Julius Tweheyo, Gerevazio Kankanka ne Tumwesigye Mudathiru.
Mu kkooti, mu maaso g’abalamuzi musanvu (7) omulamuzi omukulu Lt. General Andrew Gutti yakulembeddemu, okubasomera emisango gy’okutta Shafik Kiggundu eyali omukozi ne Moses Musinguzi eyali omukuumi ku Muto hardware, abattibwa nga 1, July, 2018.
Oludda oluwaabi, lusobodde okutwala mu kkooti abajjulizi 13 okuli abakozi ku Muto hardware nga bakulembeddwamu akwata ssente Halima Namata, Moses Kalisa amanyikiddwa nga Muto, nannyini hardware n’abasirikale okuli Godfrey Mwanje eyakulemberamu okunoonyereza okuva ku Poliisi e Masaka ne Enock Kinene eyakebera akatambi ka CCTV kamera.
Abajjulizi bonna balumiriza abakwate, okwenyigira mu kutta n’okubba obukadde bwa ssente.
Bonna 6 basindikiddwa ku limanda okutuusa nga 16, omwezi gunno ogwa December, 2019 lwe basuubira okudda mu kkooti, okubasalira ekibonerezo.