Poliisi mu Kampala etandiise okunoonyereza ku ngeri omukyala ateeberezebwa okuba omutuunzi w’akaboozi gy’asse omusajja abadde amututte mu loogi okumusanyusa.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, omulambo gwa Ivan Nyaika gusangiddwa nga gusuuliddwa okumpi ne Loogi emanyikiddwa nga Bulingo mu kyalo Butabika mu Divizoni y’e Nakawa mu Kampala.

Kigambibwa, omusajja yatuuse ku Loogi ng’ali n’omukyala kyokka wayise essaawa ntono, abakozi mu loogi, kwekusanga Nyaika nga yafudde dda.
Poliisi egamba nti omusajja yatugiddwa era omulambo gwe, gusangiddwa mu kitaba kya musaayi n’okuvaamu omusaayi mu matu.
Mungeri y’emu egambye nti etandiise okunoonyereza lwaki omulambo gwagiddwa mu loogi okubuzabuza obujulizi n’okuwudiisa abantu nti yafiiridde bweru.
Omulambo gutwaliddwa mu ggwanika okwekebejjebwa nga Poliisi bw’enoonyereza omukyala, agambibwa nti mutuuzi w’akaboozi eyenyigidde mu kutta omusajja n’abakozi ku loogi okwewozaako lwaki baafulumizza omulambo.