Omuyimbi Rema Namakula ayongedde okulaga nti mu Uganda y’omu ku bakyala abasobodde okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba.

Rema mu kiro ekikeseza olwaleero abadde ku Serena Hotel mu Kampala mu konsati “Banyabo” era abantu basobodde okuva mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo okujjuza ekifo.

Eddy Kenzo ku Siteegi
Eddy Kenzo ku Siteegi

Abayimbi okuli bba Eddy Kenzo, Ykee Bender n’abalala basobodde okuyimbirako Rema era ku siteegi yayingiddewo nga malayika.

Mwana muwala Rema yasobodde okuyimba ennyimba zonna era bangi abantu banyumiddwa nnyo nnyo nnyo.

Charles Peter Mayiga
Charles Peter Mayiga

Mu konsati, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yakoowodde abantu bonna n’okusingira ddala abavubuka okuvaayo okuyimusa ebitone byabwe kuba y’emu ku ngeri eyinza okuyambako okulwanyisa ku bbula ly’emirimu eririwo mu ggwanga.

Katikkiro Mayiga yatendereza ennyimba z’omuyimba Rema era n’asaba abayimbi bonna okusosowaza empisa enungi mu mulimu gwabwe.

Olunnaku olwaleero (10, March, 2018), Rema ali ku Satellite Beach e Mukono ate olunnaku olw’enkya ku Sande (11, March, 2018) ali ku Freedom City e Namasuba.

https://www.youtube.com/watch?v=B_7Pm25oVpE