Poliisi y’e Kabale ekutte abantu 28 bannansi ba Congo ku by’okuyingira mu Uganda mu ngeri emenya amateeka.
Ku bakwattiddwa kuliko abasajja 24 n’abakyala 4 era babadde batambulira mu bbaasi eya Sr classic coach company okuva e Goma mu ggwanga erya Democratic Republic of the Congo okudda mu kibuga Kampala.
Okusinzira kw’addumira Poliisi mu bitundu bye Kabale (DPC) Brian Ampeire, abakwate, babakwatidde mu tawuni y’e Kabale, oluvanyuma lw’okutemezebwako omu ku batuuze mu bitundu bye Kisoro.
DPC Ampeire agamba nti abasajja n’abakyala bonna, tebasangiddwa na kiwandiiko kyonna era okunoonyereza ekibaleese mu Uganda mu ngeri emenya amateeka kutandikiddewo.
Omu ku basajja abakwattiddwa okwatuukiriza erinnya lye agambye nti bazze mu Uganda kunoonya mirimu kuba e Congo embeera eyongedde okubiggya, obwavu busukkiridde.