Poliisi y’e Namisindwa etandise okusamba ensiko okunoonya omusajja ku by’okutta eyali muganzi we, omulambo naguteekera omuliro.
Omusajja anoonyezebwa, ali myaka 40 ku by’okutta Betty Mutuwa myaka 53 abadde omutuuze ku kyalo Mikhama mu ggombolola y’e Buwabwala mu disitulikiti y’e Namisindwa.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Elgon, Robert Tukei, omusajja ali mu kunoonyezebwa ku misango gy’obutemu.
Poliisi egamba nti omukyala Mutuwa kati omugenzi n’omusajja baali bayawukana dda, kyokka erina okunoonyereza lwaki omusajja yeefulidde eyali muganzi we naamutta.
Wabula omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza erinnya lye, agambye nti omusajja yali asukkiridde okulumiriza mukyala we obwenzi era y’emu ku nsonga lwaki baalemagana ne bawukana, omwezi oguwedde ogwa Janwali.