Poliisi ku kyalo Bomadi mu ssaaza lye Delta mu ggwanga erya Nigeria ekutte ssemaka ku by’okutta abantu babiri (2) abaabadde bakwattiddwa ku misango gy’okusobya ku muwala we, ali mu gy’obukulu 13.

Ssemaka ategerekeseeko erya Tari ali mu gy’obukulu 35 yakwattiddwa.

Sabiti ewedde, Poliisi yakutte abasajja 2 abagambibwa okusobya ku muwala we kyokka oluvanyuma bonna bayimbiddwa olw’okubulwa obujjulizi, obuyinza okubatwala mu kkooti.

Olwayimbuddwa, ssemaka yabalondedde era bonna battiddwa kuba yabadde tayinza kubakkiriza kutayaaya nga muwala we, eyasobezeddwako ali mu ddwaaliro ali mu mbeera mbi.

Ku Poliisi, akirizza okutta abasajja bombi era essaawa yonna bamutwala mu kkooti ku misango gy’obutemu.

Ate ye omwana eyasobezeddwako, yasangiddwa ebbaali w’ekkubo ng’ali mu mbeera mbi ssaako n’okuvaamu omusaayi mu bitundu by’ekyama.

Mu kiseera kino, ateekeddwako eccupa z’amazzi n’omusaayi.