Bya Nalule Aminah
Poliisi ekutte Kawesi Samuel myaka 29 ku ku musango gw’okujjula ebitanajja.
Kawesi mutuuze ku kyalo Kigo mu ggombolola y’e Kabulasoke mu disitulikiti y’e Gomba yakwattiddwa ku by’okusobya ku mwana myaka 7.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru agamba nti Kawesi yasobya ku mwana nga 7, March, 2020 ku kyalo Sali mu ggombolola y’e Kyegonza e Gomba.
Enanga agamba nti omwana omuwala yali ne muto we omulenzi myaka 3 nga bagenze kukima mazzi ku luzzi era Kawesi yatiisatiisa omwana omulenzi nadduka, kwe kutwala omwana omuwala mu ssamba y’ebikajjo okumusobyako.
Agamba nti mu kiseera kino Kawesi ali mu mikono gya Poliisi era essaawa yonna bamutwala mu kkooti ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.