Poliisi ekutte ssemaka ku by’okutemako mukyala we omukono, asemberedde okuzaala.

Yusufu Atuhairwe nga mutuuze ku kyalo Butendagwo mu ggombolola y’e Nyantungo mu disitulikiti y’e Kyenjojo yakwattiddwa.

Atuhairwe, yatemyeko mukyala we Harriet Kabakasaba myaka 30 omukono ogwa ddyo, olw’obutakaanya mu maka.

Okusinzira kw’addumira Poliisi y’e Kyenjojo, Julius Baganza ssemaka yakutte ejjambiya okutta mukyala we kyokka omukisa omulungi, olw’agaludde ejjambiya yakutte mukono ne gutemako.

Omukyala ali mu ddwaaliro erya Kilembe nga Poliisi bwenoonyereza.

DPC Baganza alabudde abafumbo okweyambisa abakulembeze ku byalo ssaako ne Poliisi, okuyingira mu nsonga zaabwe okusinga okutwalira amateeka mu ngalo.

Ate abatuuze bagamba nti Atuhairwe yetemyeko Kabakasaba omukono, kuba yagaanye okwegata nga yekwasa obusongasonga obutalimu.

Atuhairwe yavudde mu mbeera nti wadde mukyala we ali lubuto, tewali mbeera yonna eyinza kubalemesa kusinda mukwano, ekyamuggye mu mbeera, okufuna ejjambiya okwagala okumutta, ejjambiya n’ekwata omukono.