Winnie Nwagi ayongedde okulaga nti y’omu ku bayimbi abakyala abalina okweyambisa emibiri gyabwe okufuna abagoberezi.

Nwagi y’omu ku bakyala abayimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze okuli Show me, Fire Dancer, Kano Koze, Musawo, olukoba, Magic n’endala kyoka bangi ku bantu bagamba nti Nwagi asobodde okufuna  abagoberezi bangi olw’enyambala ye.

Ku mukutu ogwa Face Book, yatekayo vidiyo eyo wansi nga yali mu kifo ekimu ekisanyukirwamu era bangi ku bagoberezi be naddala abasajja bagamba nti asukkiridde okunafuya waaya zabwe.

Abalala bagamba nti omwana alina Work, alina ekitone ate abamu bagamba nti Nwagi Katonda yamuwa buli kimu.