Poliisi y’e Kabowa ekutte omukyala Shamirah Namubiru amanyikiddwa nga Charity myaka 18 ku by’okubba omwana.

Omwana Tanizi Ssegawa myezi esatu (3) yabibwa nga 9, November, 2019 era amangu ddala taata w’omwana Setumba Dauglous kwekuddukira ku Poliisi emuyambe okuzuula omwana we.

Kigambibwa Charity yali yeefudde ayamba ku taata Setumba okusitula omwana kyokka oluvanyuma yabulawo n’omwana.

Charity agamba nti yabye omwana okulimbalimba muganzi we nti yamuzaalira omwana oluvanyuma lw’okumulimba olubuto.

Charity bamukwattidde Nalumunye Jomayi ne bba era bonna bali ku Poliisi y’e Kabowa ku misango gy’okubba omwana.