Abatemu, abatamanyiddwa batemudde omukyala mu disitulikiti y’e Kadagi.

Abatemu, abatamanyiddwa batemudde omukyala mu disitulikiti y’e Kadagi.

Omukyala Joan Asaba abadde mutuuze mu Tawuni Kanso y’e Kagadi.

Asaba attiddwa mu kiro ekikeseza olwaleero ng’abatemu bamutemye ekigambibwa okuba ejjambiya ku mutwe, ku bulago, mu lubuto era omulambo gwe gusangiddwa mu kitaba kya musaayi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine Julius Hakiza, omulambo gusangiddwa mu nnyumba era gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kagadi okwekebejjebwa.

Poliisi egumizza abatuuze ku ky’okunoonya abatemu bakwatibwe ku misango gy’okutta mutuuze munaabwe.

Muganda w’omugenzi Bright Kasangaki agambye nti muganda we, abadde yakadda okuva mu ggombolola y’e Kiryanga gye yabadde agenze okukyalira Ssenga waabwe.