Poliisi erabudde aba Takisi okukendeza ku muwendo gw’abantu abalina okulinya Takisi zaabwe, nga kyakuyambako, okutangira CoronaVirus okusasaana.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga, yalabudde bannayuganda, abatalina mmotoka zaabwe okutambula, okusigala awaka, okuvuga obuggaali oba pikipiki zaabwe okusinga okulinya takisi eziyinza okuvaako obulwadde.

Museveni yagambye nti emmotoka ezolukale omuli Takisi okutikka abantu bangi, kiyinza okuvaako obulwadde okusasaana amangu.

Ku nsonga eyo, Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti Takisi zirina okutikka abantu babiri (2) ku buli mutto okutangira abantu okwesemberera ennyo.

Enanga agamba nti akulira Poliisi y’oku nguudo yaweereddwa ebiragiro okuteeka mu nkola buli Takisi okutikka abantu abatasukka 10.