Ssenyiga we China Covid-19 ayongedde okusatiza eggwanga Uganda nga mu kiseera kino, abakulembeze mu kitongola ekya Poliisi balagidde abaduumira Poliisi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okuyimbula abasibe bonna, abaakwatibwa ku misango emisamusaamu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, okuyimbula abasibe kikoleddwa okumalawo omujjuzo mu buduukulu bwa Poliisi mu ggwanga lyonna.

Enanga agamba nti mu lukiiko olwatudde nga lukulembeddwamu addumira Poliisi mu ggwanga Martins Ochola bakaanyiza okusigaza abasibe abali ku misango gyanaggomola.

Abasibe abalina okusigala mu mikono gya Poliisi kuliko abali ku misango gy’obutemu, obutujju, obuliisa maanyi n’okugyemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga ebyatekeddwawo okulwanyisa Coronavirus.