Poliisi ekutte omusajja ku by’okutta muganda we, olw’obutakaanya ku muti gw’omuyembe.

Walter Nyero Rwakasule ali myaka 40 yakwattiddwa ku by’okutta muganda we Martin Origa bwamukubye enkumbi ku mutwe emitiddewo enkya ya leero ku kyalo Padibe mu disitulikiti y’e  Lamwo.

Rwakasule abadde alumiriza Origa okutema omuti gw’omuyembe gwe, mwabadde aggya ssente buli sizoni okwebezaawo.

Olumaze okutta muganda we, yetutte eri akulira ebyokwerinda ku kyalo Churchill Obita era akwattiddwa, nakwasibwa Poliisi.

Okusinzira ku Patrick Jimmy Okema, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Aswa, Rwakasule akwattiddwa ku misango gy’obutemu nga n’omulambo gukwasiddwa ab’enganda okuziikibwa.