Poliisi ekutte musirikale munaabwe ku by’olw’okujeemera ekiragiro ky’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.

DPC we Ntebe Baker Kawonawo yakwatiddwa n’aggalirwa era ayolekedde okusibwa emyaka 7 ssinga omusango gumusinga.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Kawonawo ali ku misango gy’okukiriza ebifo by’olukale okukola mu bitundu bye Ntebe omuli obutale.

Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde, Pulezidenti Museveni yaggalawo obutale bw’omubuulo mu ggwanga lyonna okusobola okutangira ekirwadde kya Covid-19 ekisaasanyizibwa akawuka ka Coronavirus okusasaana.

Mu kiseera kino, Uganda erina abalwadde 14 nga kuliko bannayuganda 12 ne bannansi ba China 2.


READ  KITALO! Omuyizi wa Kampala university akubiddwa essasi erimutiddewo, entiisa ebuutikidde abaana