Poliisi ku yunivasite y’e Makerere ekutte abantu 70 ku by’okusangibwa mu yunivasite munda ate nga yaggalwawo.

Okusinzira kw’akulira ebikwekweeto bya Poliisi ku yunivasite e Makerere Jude Masingano Eliphaz, abantu 70 baakwattiddwa mu kikwekweeto ekyakulungudde ennaku 2.

Masingano agamba nti Yunivasite yaggalawo sabiti ewedde nga 20, omwezi guno Ogwokusatu era mu kikwekweeto, abakwate kubadde abayizi ssaako n’abantu abatamanyiddwa.

Agamba nti abakwate balabuddwa, obutaddamu kusalimbira ku yunivasite okutuusa nga egguddwawo kyokka oluvanyuma bayimbuddwa.

Poliisi egamba nti amyuka Chansala ku by’ensimbi n’okuddukanya emirimu ku yunivasite Professor William Bazeyo yawadde ekiragiro, okukwata abasalimbira ku Yunivasite okutuusa okutandiika ku Lwokubiri ekiro nga 24, Omwezi guno Ogwokusatu.

Makerere yaggalwa ne yunivasite endala mu ggwanga ssaako n’amasomero ku biragiro by’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ng’emu ku ngeri y’okwetangira ssenyiga we China.