Bannansi mu Africa bakyakungubaga olwa Marshal Idriss Deby abadde Pulezidenti wa Chad okufa.

Idriss myaka 68 yafudde nga wakayita olunaku lumu lwokka nga alangiriddwa nti yazzeemu okuwangula akalulu okweyongera okulembera Chad ekisanja eky’omukaaga (6) okuva 1990 lweyawamba obuyinza.

Okusinzira ku kiwandiiko ekyasomeddwa amaggye ku ttiivi y’eggwanga, Idriss yafudde nga kivudde ku biwundu ebyamutusiddwako bwe yabadde agenze okulwanyisa abatujju abaludde nga bawakanya Gavumenti ye mu mambuka g’eggwanga.

Idriss Deby abadde omu ku bakulembeze mu Africa abaludde mu buyinza era akulembedde Chad emyaka 31 era buli kulonda, abadde awangulira waggulu nnyo.

Wadde Idriss abadde akulembedde Chad emyaka 31, Africa erina abakulembeze ab’enjawulo abaludde mu ntebe, abamu baddamu okulondebwa olw’ebirungi bye bakoledde amawanga gaabwe ate abalala benyigira mu kubba akalulu, okusobola okwekuumira mu buyinza.

Olunnaku olwaleero tukuletedde ‘List’ yabakulembeze abaludde mu buyinza ku lukalu lwa Africa.

1 – Paul Biya myaka 88 mu ggwanga lya Cameroon. Yakwata obuyinza nga 30, June, 1975 era yakamala mu ntebe emyaka 45 n’ennaku 295.

2 – Teodoro Obiang Nguema Mbasogo myaka 78 mu lya Equatorial Guinea. Yakwata obuyinza nga 3, August, 1979 era yakamala mu buyinza emyaka 41 n’ennaku 261.

3 – Denis Sassou Nguesso myaka 77 mu ggwanga lya Republic of the Congo. Yakwata obuyinza ekisanja ekyasooka nga 8 February 1979 – 31 August 1992 ate yakomawo mu ntebe ekisanja ekyokubiri okuva nga 25 October 1997. Yakamala mu buyinza emyaka 37 n’ennaku 18.

4 – Yoweri Kaguta Museveni myaka 76 mu Uganda. Yakwata obuyinza nga 26 January 1986 era yakamala mu buyinza emyaka 35 n’ennaku 85. Nga 14, January, 2021, yazzeemu okulondebwa ku bukulembeze bw’eggwanga era asuubirwa okulayira nga 12, May, 2021.

5 – Isaias Afwerki myaka 75 mu ggwanga lya Eritrea, abadde Pulezidenti okuva nga 24 May 1993. Yakamala mu buyinza emyaka 27 n’ennaku 332.

6 – Paul Kagame myaka 63 mu ggwanga lya Rwanda, abadde Pulezidenti okuva nga 22 April 2000 okutuusa olwaleero. Yakamala mu buyinza emyaka 20 n’ennaku 364

7 – Hage Geingob myaka 79. Yali mu ntebe ekisanja ekyasooka okuva nga 21 March 1990 – 28 August 2002 ate yakomawo okudda mu buyinza okuva nga 4 December 2012 okutuusa olwaleero. Yakamala mu buyinza emyaka 20 n’ennaku 298.

8 – Faure Gnassingbé myaka 54 mu ggwanga lya Togo. Yakwata obuyinza ekisanja ekyasooka okuva nga 5 February 2005 – 25 February 2005, kwe kudda mu ntebe okuva nga 4 May 2005 okutuusa olwaleero. Yakamala mu buyinza emyaka 16 n’ennaku 7.

9 – Alassane Ouattara myaka 79 mu Ivory Coast, ekisanja ekyasooka okuva nga 7 November 1990 – 9 December 1993 ate eky’okubiri okuva nga 4 December 2010 okutuusa olwaleero. Yakamala mu buyinza emyaka 13 n’ennaku 170.

10 – Macky Sall myaka 59 mu ggwanga lya Senegal, yakamala mu buyinza emyaka 12 n’ennaku 27.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/778086133125440