Kati Museveni alayidde nga Pulezidenti, ki ekiddako!

Zibadde essaawa 5:45 ez’oku makya  mu maaso ga ba Pulezidenti abasukka 30, abakungu abalala okuva mu nsi ezenjawulo, Baminisita mu Uganda ssaako n’abakiise ba Palamenti, bannadiini, ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni n’akuba  ebirayiro bibiri (2) okuddamu okulembera eggwanga lino ekisanja ekyomukaaga (6).

Museveni e Kololo

Ssentebe w’akakiiko k’Ebyokulonda Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama, yasoose kwanjula ebyava mu kalulu ak’Obwapulezidenti aka 14 January, 2021 n’alaga engeri Museveni gye yawangula n’amuyita okulinnya ku kituuti.

Museveni abadde annekedde mu ssuuti enzirugavu ssaako n’ekikofiira kye ng’ali ne kabiite we Janet Kataaha Museveni awanise bayibuli mu maaso ga Ssaabalamuzi wa Uganda Alfonse Owiny-Dollo n’alayira era agambye nti “NZE Yoweri  Museveni Kaguta, ndayira mu linnya lya Katonda, nja kubeera mwesigwa,  nja kubeera muwulize eri eggwanga lya Uganda, nja kukuuma n’okulwanirira  Konsitityusoni, Mukama nnyamba“.

Museveni oluvanyuma lw’okulayira

Ebirayiro bitutte eddakiika ttaano era ku Ssaawa 5:50 zennyini ez’okumakya Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo n’akwasa Museveni  ebintu ebikola obuyinza bwa Pulezidenti okubadde, bendera y’eggwanga, bendera ey’Obwapulezidenti, Oluyimba lw’eggwanga, Akabonero k’eggwanga ne Ssiiru y’eggwanga.

Omuduumizi wa UPDF, Gen. David Muhoozi naye akwasizza Pulezidenti Museveni obubonero obw’okufuga amagye okubadde Ekitala n’Engabo , era byonna Pulezidenti Museveni nga yenna abugaanyi essanyu abiwanise waggulu kimu ku kimu nga bw’abiraga abantu.

Pulezidenti Museveni olumaze okukwasibwa obuyinza avudde ku kituuti n’asembera okumpi n’enniyiri z’amagye era bamukubidde emizinga 21 wakati mu bbandi ya y’amagye, Poliisi n’Ekitongole ky’Amakomero.

Museveni ng’alambula amaggye

Emizinga 21 oluwedde,  Pulezidenti Museveni ng’awerekerwako abakulu mu bitongole ebikuuma ddembe alambudde ennyiri z’amagye, nga kino kitutte eddaakika nga nga 12 era bw’amaze, asobodde okuddayo mu ntebe okutuula ng’afuuse Pulezidenti omuggya wakati mu ssanyu okuva mu bantu abasukka mu 4,000 abayitiddwa.

Olunnaku olwaleero, Owiny-Dollo ayingidde mu byafaayo nti ye Ssaabalamuzi owokutaano (5) okulayiza Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga lino.

Abalala mwe muli

Mu 1986 – Omuzungu Sir Peter Allen, ku kizimbe kya Palamenti nga 29, January.

Mu 1996 – Samuel Wako Wambuzi

Mu 2001, 2006 ne 2011 – Benjamin Odoki

Mu 2016 – Bart Katureeba

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4393845343982860