Omu ku bakozi eyasimatuka, okuttibwa bbomu e Komamboga e Kawempe mu Kampala omwezi oguwedde ogwa October, awanjagidde abakulembeze mu Gavumenti ssaako n’abuli muntu yenna, eyinza okumuddukira okufuna obujanjabi.

Rose Nakisita myaka 29 agamba nti, y’omu ku bakozi abaali bawereza eby’okulya ssaako n’ebyokunywa, kyokka mu kiseera kino yetaaga ssente, abasawo okuzuula engeri gye yakosebwamu.

Nakisita nga mutuuze we Bumbu- Kiteezi mu Tawuni Kanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso, mukyala muzadde ng’alina omwana myezi mukaaga (6), agamba nti mu ddwaaliro gye yali e Mpererwe, bamugyeyo olw’obutaba na ssente kufuna obujanjabi.

Wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti obulumi busukkiridde nga yetaaga obuyambi, okufuna obujanjabi, okusinga okuvundira mu nnyumba.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/11/Rose-Bomb-Final.mp3
Eddoboozi lya Rose Nakisita

Omu ku bali mu kujanjaba Nakisita awaka, Kevin Nagadya, agamba nti betaaga ensimbi, okumujanjaba mu kifuba, okufuna eby’okulya, eby’okunywa ssaako n’okulabirira omwana.

Wabula akulira ebyokwerinda ku kyalo Kiteezi Royce Kabogoza, awanjagidde Gavumenti okuvaayo okujanjaba abantu bonna abaakosebwa.

Kabogoza agamba nti ekyakoleddwa kikolwa kya butujju era Gavumenti yandibadde eyamba abali mu bulumi mu kiseera kino.

Ate ebitongole byokwerinda ebiri ku ddimu ly’okulwanyisa obutujju omuli ebya Poliisi, amaggye ssaako ne bambega bikutte abantu 48, abagambibwa okwenyigira mu kutabangula ebyokwerinda.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ebitongole byokwerinda, byakoze ebikwekweeto olw’obutujju obwakoleddwa e Komamboga e Kawempe ne batta omuntu omu Emily Nyinaneza ssaako n’omutujju Isaac Matovu, eyafiiridde mu bbaasi ya Swift e Lungala mu disitulikiti y’e Mpigi.

Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agamba nti wadde 48 bali mu mikono gyabwe, ebikwekweeto bikyagenda mu maaso okuzuula abakyamu bonna.

Mungeri y’emu agamba nti wakati mu kulwanyisa obutujju mu ggwanga, Poliisi erabudde bannayuganda kwe bayinza okulabira omuntu, alabika okuba omutujju, omuli abo, abatambula nga bakanudde amaaso.

Abalala, Poliisi egamba nti bayinza okutambula naye nga batuuyanye nnyo olw’okutya nti essaawa yonna bagenda kufa n’okutta abantu, batambula nga bali mu kusaba n’obubonero obulala.