Poliisi y’e Hoima ekutte abantu 11 ku misango gy’okwenyigira mu kutta omusirikale wa Uganda Peoples Defense Forces-UPDF mu bbaala.

Omugenzi ye Joseph Magoola omu ku bannamaggye abaali baasindikiddwa okukuuma ebintu ebikozesebwa mu kukola enguudo ebya Kampuni ya China Chongqing International Construction Company Limited- CICO, eri mu kukola oluguudo lwe Hoima–Biiso-Butiaba-Wanseko.

Kigambibwa akawungeezi k’olunnaku Olwokusatu nga 5, November, 2021 ku ssaawa nga 5 ez’ekiro, munnamaggye Magoola ng’ali mu bbaala ya Travellers Inn bar ku kyalo Kigorobya I Cell, mu disitulikiti y’e Hoima n’abantu abalala ne wabalukawo okulwanagana.

Wakati mu kulwana, omu ku bantu abali mu baala, yakuba Magoola ekintu ku mutwe.

Amangu ddala yatwalibwa mu ddwaaliro lya Kigorobya health centre IV ng’ali mu mbeera mbi era yafa bakamutuusa ku ddwaaliro.

Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine, agamba nti oluvanyuma lw’okulwanagana ne Magoola okufa, ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye bikutte abantu 11 okuyambako mu kunoonyereza era kigambibwa bonna baali mu baala.

Hakiza agamba nti abakwate bali ku kitebe kya Poliisi e Hoima kyokka agaanye okwatuukiriza amannya gaabwe nga kiyinza okutaataganya okunoonyereza era baguddwako emisango gy’obutemu.

Mungeri y’emu agamba nti bali mu kunoonya nannyini bbaala aliira ku nsiko mu kiseera kino kuba yagyemedde ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni naggulawo ebbaali, ekintu ekimenya amateeka mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.

Ebbaala mu ggwanga lyonna nzigale okuva mu March, 2020 olw’okutangira okutambuza Covid-19.