Poliisi ekutte taata ku misango gy’okutta muwala we ku kyalo Butale mu ggoombolola y’e Mukunge mu disitulikiti y’e Masaka.

Taata Kayizi Godfrey yakwattiddwa ku misango gy’okutta muwala we Nakagwa Mangada myaka 8.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, okunoonyereza kulaga nti obutakaanya awaka y’emu ku nsonga lwaki Taata yasse muwala we.

Enanga agamba nti wadde Taata akwattiddwa ku misango gy’okutta omuntu, okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

Eddoboozi lya Enanga