Kyaddaki Omukyala Zari Hassan akooye okufuna omukwano mu nkukutu ate nga bambi akuliridde mu myaka yetaaga omuntu ensi gwemanyi.

Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ensi bba omuggya mu butongole okudda mu bigere by’omuyimbi Diamond Platnumz eyamuzaalamu abaana 2 bokka.

Zari agamba nti alina emyaka 40 era mbu yazaalibwa nga 23, September, 1980 kyokka ku myaka 40, asobodde okwekuumira ku mutindo era y’emu ku nsonga lwaki bangi ku basajja bamwegomba.

Ku myaka 40, alina abaana bataano (5) omuli beyazaalira omugenzi Ivan Ssemwanga basatu (3) ate 2 mu Diamondn okuva e Tanzania.