Poliisi ya Kampala mukadde ekutte omusiisi wa Chapati ku misango gy’okutta omuntu lwa ssente shs 500.
Ronald Nsabimana nga mutuuze ku kyalo Lusanze mu Divizoni y’e Lubaga mu Kampala yakwattiddwa ku misango gy’okutta Torres Kalungi ali mu gy’obukulu 17.
Kigambibwa Nsabimana yagaanye okuwa Kalungi balansi we wa shs 500 oluvanyuma lw’okumuwa ssente shs 2,000 eza “Rolex” ya 1,500, ekyavuddeko okulwanagana.

Wakati mu kulwanagana, Nsabimana yatuunze Kalungi ekintu ekyamusse ekyatabudde abatuuze, era naye kabuze kata okumutta nga yataasiddwa Poliisi mu kiro ne bamutwala mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okufuna obujanjabi ng’ali ku mpingu.
Maama w’omugenzi Harriet Namujuzi, yafunye okutegeezebwa ku ky’omwana we okufumitibwa era yageenze okutuuka ng’ali kussa mukka gusembayo.
Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti Nsabimana aguddwako emisango gy’obutemu era Poliisi etandiise okunoonyereza.