Kyaddaki omulamuzi ow’eddaala erisooka ku kkooti Mwanga 11 Julius Mwesigye ayimbudde Herbert Solomon Kaddu ku mitwalo 30 ez’obuliwo.

Herbert Kaddu yakwatibwa, oluvanyuma lw’okulumba omulabirizi w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira ng’agaludde embukuli y’omuggo era yasaanga omulabiriza yakamala okusembeza Abakristaayo ku mmisa ya Paasika.

Kaddu omutuuze w’e Makaayi Zone e Mmengo mu ggombolola y’e Lubaga yagulwako emisango ebiri (2) omuli okutataaganya abakiriza n’okutiisatiisa okutuusa obulabe ku mulabirizi Luwalira ne Rev Canon Beno Kityo, Ddiini wa Lutiko e Rubaga.

Okuyimbulwa, aleese abantu 4 okumweyimirirwa omuli abasomesa 2 ku Makerere West Valley Primary School, Emmanuel Sekaayi ne Ronald Sebuliba abatuuze b’e Mukono era bonna basabiddwa obukadde 3 buli omu ezitali za buliwo, densite zabwe ne baluwa ya ssentebbe w’ekyalo.

Omulamuzi okuyimbula Kaddu, kidiridde, okutegeezebwa nti alumizibwa mu mbiriizi, musajja alina amaka era alina obuvunanyizibwa n’ensonga ensala.

Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Immaculate Nambajju, abadde awakanyiza eky’okuyimbula Kaddu kuba abantu abaleteddwa okuli Sebuliba ne Sekaayi ssi batuuze b’e Lubaga wadde omulamuzi awakanyiza ensonga ye.

Omusango guddamu okuwulirwa nga 28, Mayi, 2018.