Omugenzi Mowzey Radio
Omugenzi Mowzey Radio

Kyaddaki famire y’omugeenzi Moses Ssekibogo (Mowzey Radio) bongedde okulumiriza abantu abenjawulo okwenyigira mu kutta muntu wabwe.

Wadde Poliisi yakwata Godfrey Wamala amannyiddwa nga Troy ku by’okutta Radio era sabiti eno kkooti esokerwako Entebbe, yamusindise mu kkooti enkulu ku misango gy’obutemu, abooluganda lw’omugenzi Mowzey bagamba nti waliwo abantu bangi nnyo, abateekeddwa okwatibwa.

Troy
Troy

Wakati w’omwezi gwa January ne February, 2018 ku bbaala ya De Bar mu bitundu bye Ntebe mu disitulikiti y’e Wakiso omuwawaabirwa Troy yatuusa obulabe ku muyimbi Moses Sekibogo ekyamuviirako okufiira mu ddwaaliro lya Case Hospital e Kampala nga 1, Febwali, 2018.

Radio okutuusibwako obulabe yali azze kulambula nnyumba ye esangibwa e Katabi – Busambaga oluvannyuma n’agenda okusisinkana mukwano gwe Pamela Musimire ku De Bar.

Pamela Musimire n'omugenzi Radio
Pamela Musimire n’omugenzi Radio

Obutakkaanya bwabalukawo era kigambibwa nti kanyama Troy yasitula Mowzey n’amukasuka wabweru w’ebbaala oluvanyuma namukuba wansi namwasa omutwe.

 Polodyusa w'ennyimba Washington

Polodyusa w’ennyimba Washington

Wabula abooluganda lw’omugenzi nga bakulembeddwaamu nnyina Jane Kasubo beemulugunyizza ku Washington ne Pamela Musimire obutakwatibwa kutwalibwa mu kkooti ate nga balina kye bamanyi ku nfa ya y’omwana wabwe.

Aba famire bagamba nti Polodyusa w’ennyimba Washington bingi byamanyi ku nfa ya Radio era balina okulemerako okutuusa ng’akwattiddwa.